Makko 1
1
Okwanjula Yesu
(1:1-15)
Yokaana asooka Yesu okujja
(Mat 3:1-11, Luk 3:3-16, Yok 1:1,19-34)
1Okusooka kw'Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. 2#Mat 3:1-12, Luk 3:1-12, Yok 1:19-30Nga bwe kyawandiikibwa nnabbi Isaaya nti,
“Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go,
Alirongoosa oluguudo lwo;#Mal 3:1, Mat 11:10, Yok 3:28
3Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti
Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;”#Is 40:3
4Yokaana Omubatiza yajja mu ddungu, n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi. 5N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali n'ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 6Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, ne yeesibanga olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.#2 Bassek 1:8, Zek 13:4 7N'abuulira ng'agamba nti, “Oluvannyuma lwange waliwo ajja, ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula bukoba bwa ngatto ze.#Bik 13:25 8Nze mbabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.”
Yokaana abatiza Yesu
(Mat 3:13-17, Luk 3:21-23)
9 #
Mat 3:13-17, Luk 3:21-22, Yok 1:31-34 Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja n'abatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani.#Luk 2:51 10Bwe yali yakava mu mazzi, amangwago Yesu n'alaba eggulu nga libikkuse n'Omwoyo ng'amukkako ng'ejjiba; 11n'eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”#Mak 9:7, Zab 2:7, Is 42:21
Yesu akemebwa Setaani mu ddungu
(Mat 4:1-11, Luk 4:1-13)
12Amangwago Omwoyo n'asindika Yesu mu ddungu.#Zab 91:13, Yok 1:51 13N'abeera mu ddungu ennaku ana (40) ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; ne bamalayika nga bamuweereza.#Zab 91:13, Yok 1:51
Yesu atandika okubuulira Enjiri
(Mat 4:12-17, Luk 4:14,15)
14Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira Enjiri ya Katonda,#Mat 4:14,15 15ng'agamba nti, “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize Enjiri.”#Bag 4:4
Yesu alaga obuyinza bwa Katonda
(1:16—8:26)
Omulimu gwa Yesu ogwasooka e Ggaliraaya (1:16—3:12)
16Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya, Yesu n'alaba Simooni ne Andereya muganda we nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.#Mat 4:18-22, Luk 5:1-11 17Yesu n'abagamba nti, “Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu.”#Mat 13:47 18Amangwago ne baleka awo obutimba ne bamugoberera. 19Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe. 20Amangwago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera.
Yesu awonya omusajja eyaliko omwoyo omubi
(Luk 4:31-37)
21Ne bayingira mu Kaperunawumu; amangwago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza.#Mat 4:13 22Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi.#Mat 7:28,29 23Amangwago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi; 24n'akaaba nga agamba nti, “ Otwagaza ki Yesu ow'e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.”#Mak 5:7, Zab 16:10 25Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “Bunira, muveeko.” 26Awo omwoyo omubi ne gumusikambula ne gukaaba n'eddoboozi ddene ne gumuvaako.#Mak 9:26 27Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Kiki kino? Kuyigiriza kuggya, alagira n'obuyinza n'emyoyo emibi ne gimuwulira!” 28Amangwago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya.
Yesu awonya nnyazaala wa Simooni
(Mat 8:14,15, Luk 4:38,39)
29Amangwago bwe baava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya.#Mat 8:14-16, Luk 4:38-41 30Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja. Amangwago ne bamubuulira bw'ali. 31N'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza.
Yesu awonya abalwadde bangi
(Mat 8:16,17; 4:23, Luk 4:40-44)
32Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaaliko dayimooni. 33Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki. 34N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba baddayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.#Bik 16:17,18
Yesu asaba yekka mu kifo eteri bantu
35Awo mu makya ennyo, ng'obudde tebunnalaba, Yesu n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu kifo eteri bantu n'asabira eyo.#Luk 4:42-44 36Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera, 37ne bamulaba ne bamugamba nti, “Bonna bakunoonya.” 38N'abagamba nti, “Tugende awalala mu bibuga ebituliraanye, mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.” 39N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba baddayimooni.
Yesu alongoosa omugenge
(Mat 8:1-4, Luk 5:12-16)
40Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”#Mat 8:2-4, Luk 5:12-16 41N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti, “Njagala, longooka.” 42amangwago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka. 43N'amukuutira nnyo, amangwago n'amusiibula#Mak 3:12; 7:36 44ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.”#Leev 13:49; 14:2-32 45Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.
Currently Selected:
Makko 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.