YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 17

17
Yesu afuusibwa endabika ku lusozi
(Mak 9:2-13, Luk 9:28-36)
1Ennaku omukaaga (6) bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero, n'ab'oluganda Yakobo ne Yokaana, n'abakulembera ne balinnya ku lusozi oluwanvu bokka.#Mak 9:2-13, Luk 9:28-36 2Awo n'afuusibwa mu maaso gaabwe, amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.#2 Peet 1:16-18 3Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye. 4Peetero n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu (3), emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.” 5Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza, era, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.”#Mat 3:17; 16:16-17, Ma 18:15 6Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise. 7Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti, “Muyimuke, temutya.” 8Bwe bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka.
Yesu annyonnyola ebya Eriya
(Mak 9:11-13)
9Bwe baali nga bakka okuva ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti, “Temubuulirako muntu yenna bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.”#Mat 16:20 10Abayigirizwa be ne bamubuuza, nti, “Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?”#Mat 11:14, Mal 4:5 11Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Kituufu Eriya ajja ddala, era alirongoosa byonna; 12naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola nga bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu naye balimubonyaabonya.”#Mat 14:9,10 13Awo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.#Luk 1:17
Yesu awonya omulenzi eyaliko Dayimooni
(Mak 9:14-29, Luk 9:28-36)
14Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu n'ajja awali Yesu, n'amufukaamirira, ng'agamba nti, #Mat 9:14-29, Luk 9:37-42 15“Mukama wange, saasira omwana wange, kubanga agwa ensimbu, zimubonyabonya nnyo; emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi. 16N'amuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.” 17Yesu n'abaddamu nti, “Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere wano.”#Ma 32:5, Yok 14:9 18Awo Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako, omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo. 19Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bamubuuza nti, “Kiki ffe ekyatulobedde okumugoba?”#Mat 10:1 20Yesu n'abagamba nti, “Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono; kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; era tewali kigambo kye mutaliyinza.#Mat 21:21, Luk 17:6, Mak 11:23 21Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.”
Yesu ayogera nate ku kuttibwa kwe
(Mak 9:30-32, Luk 9:43-45)
22 # Mat 9:30-32, Luk 9:43-45 Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti, “Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;#Mat 16:21 23balimutta, ne ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo.
Yesu awa omusolo gwa Yeekaalu
24Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa diderakima?”#Kuv 30:13 25N'abaddamu nti, “Awa.” Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti, “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza ku bantu ki? Ku baana baabwe nantiki ku bannamawanga?” 26Peetero n'addamu nti, “Ku bannamawanga.” Yesu n'amugamba nti, “Kale abaana ba ddembe.” 27“Naye, tuleme okubesittaza, genda mu nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri; otwale eyo, ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”

Currently Selected:

Matayo 17: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in