Matayo 10
10
Yesu ayigiriza ku buvunaazibwa bwa batume
(10:1-42)
Abatume ekkumi n'ababiri
(Mak 3:13-19, Luk 6:12-16)
1Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'abawa obuyinza ku myoyo emibi, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.#Mak 6:7-13, Luk 9:1-5
2Abatume abo ekkumi n'ababiri (12), amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we;#Mak 3:14-19, Luk 6:13-16, Yok 1:40-49 3Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; 4Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe.
Yesu atuma abayigirizwa ekkumi n'ababiri
(Mak 6:7-13, Luk 9:1-6)
5Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri (12) n'ababuulirira, ng'agamba nti, “Temugenda mu b'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; 6naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.#Mat 15:24, Bik 13:46, Yer 50:6 7Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.’#Mat 4:17, Luk 10:9 8Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni; mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.#Bik 20:33 9Temutwala zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; 10newakubadde ensawo ey'olugendo, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo; kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa bye yeetaaga.#Luk 10:4, 1 Tim 5:18, Kubal 18:31 11Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12Bwe munaayingiranga mu nju, mulamusenga abali mu nju omwo.#Luk 10:5,6 13Abali mu nju eyo bw'ebanaasaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku bo; naye bw'ebataasaanenga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. 14Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe.#Luk 10:10-12, Bik 13:51; 18:6 15Ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga ekibuga ekyo.”#Mat 11:24, Luk 20:47
Okuyigganyizibwa okugenda okujja
(Mak 13:9-13, Luk 21:12-17)
16 “Laba, nze mbatuma nga muli ng'endiga wakati mu misege; kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa. #
Luk 10:3, Yok 10:12, Bik 20:29, Bar 16:19, Bef 5:15 17Naye mwekuumanga abantu; kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu;#Mat 24:9 18era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, n'okuba obujulirwa eri bo; era n'ab'amawanga.#Mat 24:14, Bik 25:23; 27:24 19Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaayogera tutya? Oba nti Tunaayogera ki? Kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.#Luk 12:11,12 20Kubanga si mmwe mulyogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe. #Yok 14:26, 1 Kol 2:4 21Ow'oluganda anaawangayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we; n'abaana banaajeemeranga ababazaala, ne babawaayo okuttibwa.#Mat 10:35, Mi 7:6 22Munnaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange; naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.#Mat 24:9,13, Yok 15:21 23Bwe babagobanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu ky'okubiri; kubanga ddala mbagamba nti, Temulibunya bibuga bya Isiraeri byonna, nga Omwana w'omuntu tannajja.” #Mat 4:17, Luk 10:9
24 “Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we. #Luk 6:40, Yok 13:16,20 25Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo okuyita abo abali mu nju ye?”#Mat 12:24
Obutatyanga kutibwa lwa Njiri
(Luk 12:2-7)
26 “Kale temubatyanga; kubanga tewali kigambo ekyabikkibwa, ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa. #
Mak 4:22, Luk 8:17 27Kye mbagambiranga mu kizikiza, mukyogereranga mu musana; kye muwuliriranga mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba. 28So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; naye mumutyenga oyo ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Ggeyeena.#Yak 4:12 29Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? Naye tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tayagadde; 30era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna. 31Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.#Mat 12:12
Obukulu bw'okwatula Yesu
(Luk 12:8-9)
32 “Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” #Luk 9:26
Si mirembe naye kitala
(Luk 12:51-53; 14:26-27)
34 “Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. #
Luk 12:51-53
35Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we;#Mi 7:6 36abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. 37Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira.#Ma 33:9, Luk 14:26,27 38N'oyo atakwata musalaba gwe n'angoberera tansaanira.#Mat 16:24,25 39Alaba obulamu bwe alibubuza; n'oyo abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.”#Luk 17:33, Yok 12:25
Okuweebwa empeera
(Mak 9:41)
40 “Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, n'akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma. #
Mat 25:40, Mak 9:41 41Akkiriza nnabbi olw'okuba nga nnabbi aliweebwa empeera ng'eya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu olw'okuba mutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu. 42Era buli awa omu ku bano abato ekikompe ky'amazzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.”#Mat 25:40, Mak 9:41
Currently Selected:
Matayo 10: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.