Lukka 6
6
Omwana w'Omuntu ne Ssabbiiti
(Mat 12:1-8, Mak 2:23-28)
1Awo olwatuuka ku ssabbiiti Yesu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya, nga babikunya mu ngalo zaabwe.#Mat 12:1-8, Mak 2:23-28 2Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Kiki ekibakoza eky'omuzizo ku ssabbiiti?”#Yok 5:10 3Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “ Era kino temukisomangako, Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala ye ne be yali nabo;#1 Sam 21:1-6 4bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa ne be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bokka?”#Leev 24:9 5N'abagamba nti, “ Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”
Yesu awonya omuntu eyalina omukono ogukaze
(Mat 12:9-14, Mak 3:1-6)
6Awo olwatuuka ku ssabbiiti endala, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza; mwalimu omuntu ow'omukono ogwa ddyo gwali gukaze.#Mat 12:9-14, Mak 3:1-6 7Awo abawandiisi n'Abafalisaayo ne bamulabiriza, oba ng'anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa.#Luk 14:1 8Naye n'amanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti, “Situka, oyimirire wakati.” N'asituka n'ayimirira. 9Awo Yesu n'abagamba nti, “ Mbabuuza mmwe, Kiki ekikkirizibwa ku ssabbiiti? Kukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?” 10N'abeetoolooza amaaso bonna, n'amugamba nti, “ Golola omukono gwo.” N'akola bw'atyo; omukono gwe ne guwona. 11Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka na bokka kye banaakola Yesu.
Yesu alonda abatume ekkumi n'ababiri
(Mat 10:1-4, Mak 3:13-19)
12Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n'avaayo n'agenda ku lusozi okusaba; n'akeesa obudde ng'asaba Katonda.#Mak 3:13-19 13Awo obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be; mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abayita abatume;#Mat 10:2-4, Yok 6:70, Bik 1:13 14Simooni era gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda we, ne Yakobo ne Yokaana, ne Firipo ne Battolomaayo, 15ne Matayo ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwa Zerote, 16ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe. 17N'akka nabo, n'ayimirira awatereevu, awaali ekibiina ekinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n'e Yerusaalemi, n'abava ku ttale ly'ennyanja ey'e Ttuulo n'e Sidoni, abajja okumuwuliriza n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe;#Mat 4:23—5:1, Mak 3:7-12 18n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. 19N'ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna.
Omukisa n'ennaku
(Mat 5:1-12)
20Awo Yesu n'ayimusa amaaso ge n'atunulira abayigirizwa be n'agamba nti, “ Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe.#Mat 5:3,4,6,11,12 21Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano; kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa, abakaaba kaakano; kubanga muliseka.#Kub 7:16,17, Zab 126:5,6, Is 61:3 22Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'omuntu.#Yok 15:19; 16:2 23Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi. 24Naye zibasanze mmwe abagagga! kubanga mumaze okuba n'essanyu lyammwe.#Yak 5:1 25Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba.#Is 5:22 26Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab'obulimba.” #Yak 4:4, Mi 2:11
Okwagala abalabe
(Mat 5:38-48; 7:12)
27 “Naye mbagamba mmwe abawulira nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, #
Mat 5:39-48
28musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababavuma. 29Oyo akukubanga ku ttama omukyusizanga n'eddala; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. 30Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate. 31Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.#Mat 7:12 32Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. 33Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi bakola bwe batyo. 34Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibi baazika bannaabwe abalina ebibi, balyoke basasulwe kye babazise.#Leev 25:35,36 35Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga nga temusuubira kubaddiza; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi. 36Mube n'ekisa, nga Kitammwe bw'alina ekisa.”
Obutasalira balala omusango
(Mat 7:1-5)
37 “Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga muntu musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: #
Mat 7:1-29
38Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.”#Mak 4:24
39Era n'abagamba n'olugero, nti, “ Omuzibe w'amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Tebagwa bombi mu bunnya?#Mat 15:14; 23:16,24 40Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw'alituukirizibwa aliba ng'omuyigiriza.#Mat 10:24,25, Yok 15:20 41Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? 42Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo. 43Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. 44Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo. 45Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.”#Mat 12:34,35
Abazimbi ababiri
(Mat 7:24-27)
46 “Era mumpitira ki Mukama wammwe, Mukama wammwe, so nga temukola bigambo bye njogera? #
Mal 1:6, Mat 7:21 47Buli muntu yenna ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange era n'abikola, nnaabalaga bw'afaanana: 48afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba n'asima wansi nnyo, omusingi n'agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n'okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa ku lwazi. 49Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n'atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n'egwa amangwago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kuba kunene.”
Currently Selected:
Lukka 6: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.