YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 4

4
Yesu akemembwa mu ddungu
(Mat 4:1-11, Mak 1:12-13)
1Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku mugga Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu,#Mat 4:1-11, Mak 1:12,13 2n'amalayo ennaku ana (40), ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. 3Setaani n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” 4Yesu n'amuddamu nti, “ Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka.” 5Awo n'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono.#Ma 8:3 6Setaani n'amugamba nti, “ Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. 7Kale nno bw'onoonsinza, buno bwonna bunaaba bubwo.” 8Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.”#Ma 6:13,14 9N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi; 10kubanga kyawandiikibwa nti,
“Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
11Era nti
Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.”
12Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.”#Mat 6:16 13Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera.#Beb 4:15
Omulimu gwa Yesu mu Ggaliraaya
(4:14—9:50)
14Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.#Mat 4:12-17, Mak 1:14,15 15N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza.
Yesu e Nazaaleesi
(Mat 13:53-58, Mak 6:1-6)
16Yesu n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.#Mat 13:53-58, Mak 6:1-6 17Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti, #Is 61:1,2; 58:6
18 “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze,
Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi:
Antumye okutegeeza abanyage okuteebwa,
N'okuzibula abazibe b'amaaso,
Okuta abanyigirizibwa,
19 Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.” # Leev 25:10
20N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso. 21N'atandika okubagamba nti, “Olwaleero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.” 22Bonna ne bamwogerako bulungi, era ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti, “ Ono si ye Mwana wa Yusufu?”#Yok 6:42 23N'abagamba nti, “Ddala temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo ky'ewammwe.”#Mat 4:13 24Era n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo ky'ewaabwe.#Yok 4:44 25Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enkuba nga tetonya enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna;#1 Bassek 17:1,9; 18:1, Yak 5:17 26Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu. 27Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli.”#2 Bassek 5:14 28Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo; 29ne bayimuka, ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, balyoke bamusuule wansi. 30Naye n'abayitamu wakati n'agenda.
Yesu awonya omuntu eyaliko Dayimooni
(Mak 1:21-28)
31 # Mak 1:21-28 Awo Yesu n'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti:#Mat 4:13, Yok 2:12 32ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza.#Mat 7:28,29, Yok 7:46 33Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, 34“Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.” 35Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “ Sirika, muveeko.” Dayimooni bwe yamusuula wakati waabwe n'amuvaako nga tamukoze kabi. 36Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bava ku bantu!” 37Ettutumu lye ne libuna mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo.
Yesu awonya nnyazaala wa Simooni
(Mat 8:14-15, Mak 1:29-31)
38Awo Yesu n'asituka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe amuwonye.#Mat 8:14-17, Mak 1:29-39 39Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangwago n'agolokoka n'abaweereza.
Yesu awonya abantu bangi
(Mat 4:23-25; 8:16,17, Mak 1:32-39)
40Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, Yesu n'akwata ku buli mulwadde, n'abawonya. 41Ne badayimooni ne bava ku bantu bangi, ne bakaaba nga bagamba nti, “ Ggwe oli Mwana wa Katonda.” N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo.#Mat 8:29, Mak 3:11,12
42Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo eteri bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, era ne baagala okumuziyiza aleme okubavaako. 43Naye n'abagamba nti, “ Kiŋŋwanidde okubuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga ekyo kye kyantumya.”#Luk 8:1
44Awo n'abuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya.#Mat 4:23

Currently Selected:

Lukka 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in