YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 11

11
Yesu ayigiriza okusaba
(Mat 6:9-13; 7:7-11)
1Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ali mu kifo ekimu ng'asaba, bwe yamala okusaba, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “ Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.”#Luk 5:33 2N'abagamba nti, “ Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje.#Mat 6:9-13 3Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku. 4Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.”
5N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; 6kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; 7n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti, ‘Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?’#Mat 26:10 8Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga.#Luk 18:5 9Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo.#Mat 7:7-11 10Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. 11Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? Oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja? 12Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba? 13Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abo abamusaba.”
Yesu ne Beeruzebuli
(Mat 12:22-30, Mak 3:20-27)
14Yesu yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya.#Mat 12:22-30,43-45, Mak 3:22-27 15Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni ng'akozesa obuyinza bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.” 16N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.#Mak 8:11 17Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti, “ Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. 18Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. 19Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Bwe batyo kye baliva baba abalamuzi bammwe. 20Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.#Kuv 8:19 21Omuntu ow'amaanyi ng'alina eby'okulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe: 22naye amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, amunyagako eby'okulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye.#Bak 2:15 23Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.”#Luk 9:50
Okudda kwa Dayimooni ku muntu
(Mat 12:43-45)
24 “Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Kanzireyo mu nnyumba yange mwe nnava. 25Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa. 26Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.”#Yok 5:14
Omukisa ogwa namaddala
27Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti, “ Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.”#Luk 1:28,42,48 28Naye ye n'agamba nti, “ Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.”#Luk 8:15,21
Akabonero ka Yona
(Mat 12:38-42)
29Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti, “ Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, naye tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona.#1 Kol 1:22 30Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino. 31Kabaka omukazi ow'obukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.#1 Bassek 10:1 32Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.”#Yon 3:5
Ekitangaala ky'omubiri
(Mat 5:15; 6:22-23)
33 “Tewali akoleeza ttaala n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka. # Luk 8:16, Mat 5:15 34Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde ekitangaala; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza.#Mat 6:22,23 35Kale weekuumenga ekitangaala kyolina kiremenga okubeera ekizikiza. 36Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula ekitangaala, nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula ekitangaala ng'ettaala bw'ekumulisiza n'ekitangaala kyayo.”
Zibasanze Abafalisaayo n'Abayigiriza b'amateeka
(Mat 23:1-36, Mak 12:38-40)
37Awo Yesu bwe yali ng'akyayogera, Omufalisaayo n'amuyita ewuwe okulya emmere: Yesu n'ayingira n'atuula ku mmere.#Luk 7:36; 14:1 38Omufalisaayo ne yeewuunya bwe yalaba Yesu nga tasoose kunaaba nga tannalya.#Mat 15:2 39Mukama waffe n'amugamba nti, “ Mmwe Abafalisaayo munaaza ku ngulu w'ekikompe n'aw'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi.#Mat 23:1-36 40Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? 41Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.”
42 “Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye obwenkanya n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo. 43Zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale.#Luk 20:46 44Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi.”
45Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti, “ Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe.” 46N'agamba nti, “ Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe. 47Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta. 48Bwe mutyo muli bajulirwa nti musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo batta bannabbi, nammwe muzimba amalaalo gaabwe. 49N'amagezi ga Katonda kye gaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya; 50omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu ab'emirembe gino; 51okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne Yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulivunaanibwa abantu ab'emirembe gino.#Lub 4:8, 2 Byom 24:20 52Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.”
53Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi; 54nga bamutega mu bigambo, bawulire ebinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire.#Luk 20:20

Currently Selected:

Lukka 11: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in