YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana Ennyanjula

Ennyanjula
Yokaana mutabani wa Zebbedaayo ye yawandiika enjiri eno, yali muyudaaya, omu ku bayigirizwa ekkumi nababiri (12), era omu ku basatu ababeeranga ku lusegere lwa Yesu. Ayogerwako nga omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga, (Yok 13:23), era yawandiika ne Ebbaluwa za Yokaana 1-3, wamu ne Okubikkulirwa. Enjiri eno yawandiikibwa awo nga mu 70 AD omwaka Yeekaalu e Yerusaalemi gweyazikiririzibwamu oba mu 100 AD, omwaka Yokaana gwe yattirwamu. Enjiri ya Yokaana etegeeza nti Yesu ye Kristo ayali aludde nga alindirirwa, era omwana wa Katonda. Okukkiriza Yesu ono ofuna obulamu obutaggwaawo, (Yok 20:30-31). Okukakasa nti Yesu ye Kristo, Yokaana yeesigama ku bubonero Yesu bweyakola, era ne ku bintu bingi n'abantu abali bajulira kino. Abajulizi bano mulimu: ebyawandiikibwa, Yokaana Omubatiza, Yesu kennyini, Katonda Kitaffe, eby'amagero bya Yesu, Yokaana bw'ayita obubonero, Omwoyo Omutukuvu, ne Yokaana yennyini.
Ebiri mu kitabo
I. Yesu Kigambo afuuka omuntu (1:1-18).
II. Obubonero n'okuyigiriza okulaga Yesu nga bwali (1:19—12:50).
III. Okuyigiriza okwasembayo, okubonaabona, okufa n'okuzuukira kwa Yesu (13:1—20:31).
IV. Ebisembayo n'obuvunaanyizibwa bwa Peetero (21:1-25).

Currently Selected:

Yokaana Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in