YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 9

9
Yesu awonya omuntu eyazaalibwa nga muzibe
1Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.#Bik 3:2; 14:8 2Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?”#Luk 13:2, Kuv 20:5 3Yesu n'addamu nti, “Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye.#Yok 11:4 4Ffe kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera.#Yok 5:17,20; 11:9 5Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi.”#Yok 8:12; 12:35 6Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,#Mak 8:23 7n'amugamba nti, “Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu” (ekitegeeza nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba. 8Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti, “Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza?” 9Abalala ne bagamba nti, “Ye wuuyo,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, naye afaanana naye.” Ye n'agamba nti, “Nze nzuuno.” 10Awo ne bamugamba nti, “Kale amaaso go gaazibuka gatya?” 11Ye n'addamu nti, “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti, Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.” 12Ne bamugamba nti, “Ali ludda wa oyo?” N'agamba nti, “Simanyi.”
Abafalisaayo bakemereza eyawonyezebwa
13Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli edda eyali omuzibe w'amaaso. 14Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso.#Yok 5:9 15Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti, “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.” 16Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti.” Naye abalala ne bagamba nti, “Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano?” Ne wabaawo okwawukana mu bo.#Yok 3:2; 7:43; 9:31,33 17Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti, “Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso?” Naye n'agamba nti, “Ye nnabbi.”#Yok 4:19 18Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula 19ne bababuuza nga bagamba nti, “Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya? ” 20Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti, “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: 21naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.” 22Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okukkaanya nti buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro.#Yok 7:13; 12:42; 16:2 23Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye. 24Awo ne bayita omulundi ogwokubiri omuntu oli eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi.”#Yos 7:19 25Ye n'addamu nti, “Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.” 26Awo ne bamugamba nti, “Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go?” 27N'abaddamu nti, “Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?” 28Ne bamuvuma, ne bagamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava.” 30Omuntu n'addamu n'abagamba nti, “Kino kitalo! mmwe obutamanya gy'ava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso! 31Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira.#Is 1:15, Nge 15:29, Bik 10:35 32Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.”#Yok 9:16 34Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe?” Ne bamusindikira ebweru.#Yok 9:2, Zab 51:5
Obutalaba kibi ku kyenenya buzibe
35Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda?” 36Ye n'addamu, n'agamba nti, “Mukama wange, ye ani, mmukkirize?” 37Yesu n'amugamba nti, “Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo.”#Yok 4:26; 10:25 38Ye n'agamba nti, “Mukama wange, nzikirizza.” N'amusinza. 39Yesu n'agamba nti, “Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe b'amaaso.”#Mat 13:11-15 40Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti, “Naffe tuli bazibe b'amaaso?”#Mat 15:14; 23:26 41Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde bazibe b'amaaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.”

Currently Selected:

Yokaana 9: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in