YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 7

7
Yesu ne baganda be
1Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya; kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.#Mak 9:30, Luk 9:51 2Naye embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka. #Leev 23:34 3Awo baganda be ne bamugamba nti, “Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirimu gyo gy'okola.#Yok 2:12, Mat 12:46, Bik 1:14 4Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.” 5Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza. 6Awo Yesu n'abagamba nti, “Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.#Yok 2:4 7Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi.#Yok 15:18 8Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.” 9Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya.
Yesu ku mbaga ey'Ensiisira
10Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama. 11Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti, “Ali ludda wa?” 12Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala nga bagamba nti, “Mulungi;” ate abalala nga bagamba nti, “Nedda, naye akyamya abantu.” 13Naye olw'okutya Abayudaaya tewaali yamwogerako mu lwatu. #Yok 9:22; 12:42; 19:38
14Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga Yesu n'ayambuka mu Yeekaalu, n'ayigiriza. 15Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti, “Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?”#Mat 13:54, Luk 2:47 16Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma.#Yok 12:49 17Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange. 18Ayogera eby'amagezi ge, anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo aba wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.#Yok 5:41,44 19Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?”#Yok 5:16,18,47, Bik 7:53, Bar 2:17-29 20Ekibiina ne baddamu nti, “Oliko dayimooni, ani asala amagezi okukutta?”#Mak 3:21, Yok 8:48,52; 10:20 21Yesu n'addamu n'agamba nti, “Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna ne mwewuunya. #Yok 5:16 22Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja) ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.#Lub 17:10-12, Leev 12:3 23Oba ng'omuntu akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okumenyebwa; lwaki munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti? #Yok 5:8 24Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.”#Yok 8:15
25Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti, “Gwe banoonya okutta si ye wuuno? #Yok 7:19 26Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo? 27Naye ono tumanyi gy'ava; sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.” #Yok 7:41 28Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu Yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti, “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe. 29Nze mummanyi; kubanga nnava gy'ali, era ye yantuma.”#Mat 11:27 30Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.#Yok 8:20; 13:1, Luk 22:53 31Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti, “Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?”
Abasserikale batumibwa okukwata Yesu
32Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata. 33Awo Yesu n'agamba nti, “Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma.#Yok 13:33 34Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.”#Yok 8:21; 13:33; 17:24 35Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti, “Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani? 36Kigambo ki ekyo ky'agamba nti, Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.”
Ensulo z'amazzi amalamu
37Naye ku lunaku olw'enkomerero, era olusingira ddala obukulu ku mbaga, Yesu n'ayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.#Yok 4:10,14, Leev 23:36 38Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.”#Is 44:3; 55:1; 58:11, Ez 47:1,12, Zek 13:1; 14:8, Yo 2:28; 3:18 39Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.#Yok 16:7, 2 Kol 3:17
Abantu baawukanamu
40Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti, “Mazima, ono ye nnabbi oli.”#Yok 6:14, Ma 18:15 41Abalala ne bagamba nti, “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya?#Yok 1:46 42Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?”#2 Sam 7:12, Mi 5:2, Mat 2:5,6; 22:42, Zab 89:3 43Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe.#Yok 9:16 44Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.#Yok 7:30
Obutakkiriza bw'abakulembeze b'Abayudaaya
45Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti, “Ekibalobedde ki okumuleeta?”#Yok 7:32 46Abambowa ne baddamu nti, “Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.”#Mat 7:28,29 47Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti, “Era nammwe abakyamizza? 48Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?#Yok 12:42 49Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.” 50Nikoodemo omu ku bo, era edda eyagenda eri Yesu n'abagamba nti,#Yok 3:1,2 51“Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?”#Ma 1:16,17; 19:15 52Ne baddamu ne bamugamba nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya.” #Yok 1:46; 7:41 53Buli muntu n'addayo eka.

Currently Selected:

Yokaana 7: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in