YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 46

46
Babbulooni okuzikirizibwa
1Beeri avuunama, Nebo akutama;
ebifaananyi byabwe biri ku nsolo ez'omu nsiko, ne ku nte;
ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu,
bizito ku nsolo ezikooye.#Is 21:9, Yer 50:2
2Bakutama bavuunama wamu;
tebayinza kuwonya mugugu,
naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
3Mumpulire, ggwe ennyumba ya Yakobo,
n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri,
be nnaweekanga okuva lwe mwazaalibwa,
be nnasitulanga mu lubuto;
4n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo;
n'okutuusa ku nvi nnaabasitulanga;
nze nnabakola era nze nnaabaweekanga;
nnaabasitulanga era nnaabalokolanga.#Zab 71:18
5Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingeraageranyaako tufaanane?
6Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo
ne bapima effeeza mu minzaani,
bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda;
bavuunamira, ne basinza.
7Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula
ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira;
mu kifo kye tayinza kuvaawo;
weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula
newakubadde okumuwonya mu nnaku ye.#Zab 115:7
8Mujjukire kino mmwe, mulowooze,
mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi.
9Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda;
kubanga nze Katonda so tewali mulala;
nze Katonda so tewali anfaanana;
10alanga enkomerero okuva ku lubereberye,
n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda;
ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera
era ndikola bye njagala byonna;#Zab 33:11, Nge 19:21, Beb 6:17
11ayita ennyonyi ey'amaddu okuva ebuvanjuba,
omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala;
weewaawo, n'ayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza;
n'ateesa, n'okukola ndikikola.#Kubal 23:19, Is 41:2
12Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abali ewala n'obutuukirivu;
13nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala,
n'obulokozi bwange tebulirwawo;
era nditeeka obulokozi mu Sayuuni
ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.#Zab 85:9, Is 51:5, Yo 2:32

Currently Selected:

Isaaya 46: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in