Olubereberye 30
30
1Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti, “Mpa abaana, oba si ekyo n'afa.”#Lub 29:31 2Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n'agamba nti, “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?”#Lub 16:2; 29:29; 50:23, Yob 3:12 3N'ayogera nti, “Twala omuzaana wange Bira, weegatte naye alyoke azaalire ku maviivi gange, nange nfune abaana mu ye.”#Lub 16:2; 29:29; 50:23, Yob 3:12 4N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa; Yakobo ne yeegatta naye. 5Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 6Laakeeri n'ayogera nti, “Katonda asaze omusango, era awulidde eddoboozi lyange, ky'avudde ampa omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya lye Ddaani.#Lub 49:16#30:6 Ddaani Mu Lwebbulaniya litegeeza “Asaze omusango, era awulidde.” 7Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 8Laakeeri n'ayogera nti, “Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze.” N'amutuuma erinnya lye Nafutaali.#30:8 Nafutaali Mu Lwebbulaniya litegeeza “Mmezze” 9Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa. 10Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.#Lub 29:24 11Leeya n'ayogera nti, “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya lye Gaadi.#30:11 Gaadi Mu Lwebbulaniya litegeeza “Mukisa.” 12Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 13Leeya n'ayogera nti, “Nsanyuse, kubanga abakazi banaampitanga musanyufu.” N'amutuuma erinnya lye Aseri.#30:13 Aseri Mu Lwebbulaniya litegeeza “Nsanyuse.” 14Mu biseera by'amakungula g'eŋŋaano Lewubeeni n'agenda mu nnimiro n'alabayo amadudayimu, n'agaleetera nnyina Leeya.#30:14 Amadudayimu Kika kya kimera ekali kirowoozebwa okuleeta okuganja. Awo Laakeeri n'agamba nti, “Nkwegayiridde mpa ku madudayimu ag'omwana wo.”#Lub 7:13 15N'amuddamu n'ekkabyo nti, “Okiyita kitono okunzigyako baze? Era oyagala n'okunzigyako n'amadudayimu g'omwana wange?” Laakeeri n'amugamba nti, “Bw'onompa amadudayimu g'omwana wo, Yakobo anaasula naawe ekiro kino.” 16Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti, “Ojja kusula nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amadudayimu g'omwana wange okukugula.” Yakobo n'asula naye ekiro ekyo. 17Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano. 18Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nnawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma erinnya lye Isakaali.#30:18 Isakaali Mu Lwebbulaniya litegeeza “Katonda ampadde empeera.” 19Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. 20Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya lye Zebbulooni#30:20 Zebbulooni Mu Lwebbulaniya litegeeza “okussaamu ekitiibwa.”. 21Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina. 22Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe.#Lub 8:1; 29:31 23Laakeeri N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Katonda anzigyeko okuvumibwa kwange.”#Is 4:2, Luk 1:25 24N'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti, “Mukama annyongeddeko omwana omulala ow'obulenzi.”#Lub 35:17#30:24 Yusufu mu Lwebbulaniya litegeeza “annyongeddeko.”
Yakobo alamuzaganya ne Labbaani
25Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe. 26Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, ndyoke ŋŋende: kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”#Lub 29:20,30 27Labbaani n'amugamba nti, “Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano; kubanga nzudde nga Mukama yampa omukisa ku bubwo.#Lub 39:3,5 28Nnamulira empeera gye nnaakuwanga.”#Lub 29:15 29Yakobo n'amugamba nti, “Omanyi bwe nnakuweerezanga, nga ndabirira ebisibo byo, era ebisibo byo bwe byali nange.#Lub 31:6; 31:38-40 30Kubanga bye walina byali bitono nga sinnajja, naye kaakano byeyongedde okuba ebingi era Mukama yakuwa omukisa buli gye nnagendanga yonna. Naye kaakano nze ndifuna ddi eby'omunnyumba yange?” 31Labbaani n'amubuuza nti, “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'amugamba nti, “Tolina ky'onompa. Nja kwongera okulabirira ebisibo byo singa onoonkolera kino: 32Leka mpite mu kisibo kyo kyonna leero, ŋŋende nga nzijamu buli mbuzi n'endiga enkulu, eza bujagijagi n'ez'ebitanga, na buli ndiga nto enzirugavu okuba empeera yange.#Lub 31:8 33Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya bujagijagi, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.” 34Labbaani n'ayogera nti, “Kale kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri.” 35Ku lunaku olwo Labbani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga, n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira. 36N'assaawo ebbanga wakati we ne Yakobo lya lugendo lwa nnaku ssatu okwawula ezize n'eza Yakobo. Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo. 37Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako ebikuta ebimu, ne bukola enguudo enjeru. 38Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'ebisibo mu byesero, ebisibo we byajjanga okunywera, kubanga endiga n'embuzi zawakanga nga zizze okunywa.#Kuv 2:16 39Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga, n'eza bujagijagi n'eza bitanga. 40Yakobo n'ayawula endiga enkazi n'azitunuza mu kisibo kya Labbaani nga zitunulidde eza biwunga, n'enzirugavu ez'omu kisibo kya Labbani. 41Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zabaanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'ekisibo ziwakire we buli; 42naye bwe zaabanga ennafu teyabuteekangawo. Bwe zityo ennafu ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi ne ziba eza Yakobo. 43Yakobo, n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.#Lub 24:35; 26:13,14
Currently Selected:
Olubereberye 30: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.