YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 12

12
Katonda ayita Ibulaamu
1Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga.#Bik 7:3, Beb 11:8 2Ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe;#Lub 18:18, 1 Bassek 3:8 3nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.”#Lub 18:18; 22:18; 26:4; 27:29; 28:14, Kuv 23:22, Kubal 24:9, Zab 72:17, Bik 3:25, Bag 3:8 4Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye; Ibulaamu yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano (75) bwe yava mu Kalani. 5Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n'abaddu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.#Lub 11:31 6Ibulaamu n'ayita mu nsi eyo n'atuuka e Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanani yali akyali mu nsi mu biro ebyo.#Ma 11:30, Balam 7:1 7Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti, “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” N'azimbira Mukama eyamulabikira ekyoto.#Lub 13:15; 17:8, Kuv 33:1, Ma 34:4 8N'avaayo n'agenda awali olusozi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba. Ibulaamu n'azimba ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama.#Beb 11:9 9Ibulaamu n'atambula, ng'ayolekedde ekkubo ery'obukiikaddyo.
Ibulaamu Agenda e Misiri
10Enjala n'egwa mu nsi ya Kanani; Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo kubanga enjala yali nnyingi mu nsi. 11Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti, “Laba, mmanyi nga ggwe oli mukazi mulungi mu ndabika; 12kale Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti, ‘Oyo ye mukazi we,’ era nze, balinzita naye ggwe balikuleka ng'oli mulamu.#Lub 20:1-18 13Nkwegayiridde, ogambanga nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.” 14Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba mukazi we nga mulungi nnyo. 15N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo.#Es 2:16, Lub 2:8; 19:17,24,25,28, Ma 34:3, Zab 107:34 16Falaawo n'ayisa bulungi Ibulaamu ku lwa Salaayi, n'amuwa endiga, ente, endogoyi ensajja n'enkazi, eŋŋamira, abaddu n'abazaana. 17Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'endwadde ez'amaanyi.#Zab 105:14 18Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti, “Kino kiki ky'onkoze? Kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? 19Kiki ekyakwogeza nti, ‘Ye mwannyinaze,’ nange ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale ogende.” 20Falaawo n'alagira abasajja be ne bawerekera Ibulaamu ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Currently Selected:

Olubereberye 12: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in