“Kabaka bw'alibagamba nti: ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ggwe Musa oligamba Arooni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga kabaka gufuuke omusota.’ ”
Awo Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be, ne gufuuka omusota.