Ndibayingiza mu nsi, gye nalayira okuwa Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ndigibawa mmwe ebe obutaka bwammwe. Nze Mukama.’ ”
Musa n'agamba bw'atyo Abayisirayeli, kyokka ne batamukkiriza, kubanga baali baterebuse olw'okufugibwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.