1
Mar 10:45
BIBULIYA ENTUKUVU
Era ng'Omwana w'Omuntu, teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango ku lw'abangi.”
Compare
Explore Mar 10:45
2
Mar 10:27
Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye si ku Katonda; kubanga ku Katonda byonna bisoboka.”
Explore Mar 10:27
3
Mar 10:52
Yezu n'amugamba nti: “Weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangu ago n'addamu okulaba, n'agenda ng'amugoberera mu kkubo.
Explore Mar 10:52
4
Mar 10:9
Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.”
Explore Mar 10:9
5
Mar 10:21
Yezu n'amwekaliriza, n'amwagala, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: genda, tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.”
Explore Mar 10:21
6
Mar 10:51
Yezu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amugamba nti: “Muyigiriza, ndabe.”
Explore Mar 10:51
7
Mar 10:43
sso mu mmwe si bwe kiri. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeere muweereza wammwe
Explore Mar 10:43
8
Mar 10:15
Mazima mbagamba nti yenna atayaniriza bwakabaka bwa Katonda nga mwana muto, talibuyingiramu n'akamu.”
Explore Mar 10:15
9
Mar 10:31
Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
Explore Mar 10:31
10
Mar 10:6-8
naye okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda yabakola omusajja n'omukazi. Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we, ababiri balifuuka omubiri gumu. Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu.
Explore Mar 10:6-8
Home
Bible
Plans
Videos