1
Yow 16:33
BIBULIYA ENTUKUVU
Bino mbibagambye, mulyoke mubeere n'emirembe mu nze. Ku nsi mulisanga ebizibu; naye mubeere bagumu, nze ensi ngiwangudde.”
Compare
Explore Yow 16:33
2
Yow 16:13
Naye Mwoyo oyo ow'amazima bw'alituuka, alibatuusa ku mazima gonna, kubanga talyogera ku bubwe yekka, naye by'anaawuliranga anaabyogeranga, n'ebirijja alibibabuulira.
Explore Yow 16:13
3
Yow 16:24
N'okutuusa kati mubadde temunnasaba kantu mu linnya lyange; musabe, mujja kufuna, essanyu lyammwe lituukirire.
Explore Yow 16:24
4
Yow 16:7-8
Kyokka nze mbabuulira amazima nti kibagasa nze okugenda; kubanga bwe sigenda, Omuwolereza talijja gye muli; naye bwe ŋŋenda, ndimubatumira. Oyo bw'alijja, alinenya ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'okulamulibwa
Explore Yow 16:7-8
5
Yow 16:22-23
Nammwe nno kaakano mukabiriddwa, naye ndibalaba ogwokubiri, olwo emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako. Ku lunaku olwo temulimbuuza kantu. Mbagambira ddala mazima nti bwe munaabangako kye musaba Taata, alikibawa mu linnya lyange.
Explore Yow 16:22-23
6
Yow 16:20
Mbagambira ddala mazima nti mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, ensi yo ng'esanyuka; mulikabirirwa, naye okukabirirwa kwammwe kulifuuka essanyu.
Explore Yow 16:20
Home
Bible
Plans
Videos