Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange,
N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi
N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya,
N'oliriranga okutegeera.
Bw'onooganoonyanga nga ffeeza,
N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;
Kale lw'olitegeera okutya Mukama,
N'ovumbula okumanya Katonda.