1
Lukka 17:19
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
Compare
Explore Lukka 17:19
2
Lukka 17:4
Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”
Explore Lukka 17:4
3
Lukka 17:15-16
Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
Explore Lukka 17:15-16
4
Lukka 17:3
Mwekuume. “Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga.
Explore Lukka 17:3
5
Lukka 17:17
Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa?
Explore Lukka 17:17
6
Lukka 17:6
Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
Explore Lukka 17:6
7
Lukka 17:33
Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.
Explore Lukka 17:33
8
Lukka 17:1-2
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato.
Explore Lukka 17:1-2
9
Lukka 17:26-27
“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
Explore Lukka 17:26-27
Home
Bible
Plans
Videos