Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”
Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?”
Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.