1
Yokaana 19:30
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.
Compare
Explore Yokaana 19:30
2
Yokaana 19:28
Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.”
Explore Yokaana 19:28
3
Yokaana 19:26-27
Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.
Explore Yokaana 19:26-27
4
Yokaana 19:33-34
Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu. Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.
Explore Yokaana 19:33-34
5
Yokaana 19:36-37
Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.” Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”
Explore Yokaana 19:36-37
6
Yokaana 19:17
n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa.
Explore Yokaana 19:17
7
Yokaana 19:2
Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe
Explore Yokaana 19:2
Home
Bible
Plans
Videos