1
Yokaana 14:27
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
Compare
Explore Yokaana 14:27
2
Yokaana 14:6
Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.
Explore Yokaana 14:6
3
Yokaana 14:1
“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.
Explore Yokaana 14:1
4
Yokaana 14:26
Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
Explore Yokaana 14:26
5
Yokaana 14:21
Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
Explore Yokaana 14:21
6
Yokaana 14:16-17
nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
Explore Yokaana 14:16-17
7
Yokaana 14:13-14
Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Explore Yokaana 14:13-14
8
Yokaana 14:15
“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange
Explore Yokaana 14:15
9
Yokaana 14:2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.
Explore Yokaana 14:2
10
Yokaana 14:3
Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
Explore Yokaana 14:3
11
Yokaana 14:5
Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
Explore Yokaana 14:5
Home
Bible
Plans
Videos