1
Yokaana 13:34-35
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
Compare
Explore Yokaana 13:34-35
2
Yokaana 13:14-15
Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.
Explore Yokaana 13:14-15
3
Yokaana 13:7
Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
Explore Yokaana 13:7
4
Yokaana 13:16
Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye.
Explore Yokaana 13:16
5
Yokaana 13:17
Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.
Explore Yokaana 13:17
6
Yokaana 13:4-5
n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
Explore Yokaana 13:4-5
Home
Bible
Plans
Videos