Ne ŋŋenda eri malayika, ne mugamba okumpa omuzingo. N'aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; gunaakaawa mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko gunaaba guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.” Ne ntwala omuzingo omutono nga nguggya mu mukono gwa malayika, ne ngulya. Mu kamwa kange ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki, naye mu lubuto lwange ne gukaawa.