Лого на YouVersion
Иконка за търсене

Olubereberye 6

6
1Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab'obuwala, 2abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 3#Zab 78:39, 1 Peet 3:19,20Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira. 5#Lub 8:21, Zab 14:2,3; 51:5, Nge 6:18, Yer 17:19, Mat 15:9, Bar 3:23Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 6#2 Sam 24:16, Is 63:10, Bef 4:30Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe. 7Mukama n'ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 8#Lub 19:19, Kuv 33:12Naye Nuuwa n'alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
9 # Lub 5:22 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda. 10Nuuwa n'azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 11Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu. 12#Zab 14:2,3Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. 13#Ez 7:2,3,6, Am 8:2Katonda n'agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n'ensi. 14Weekolere eryato n'omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo. 15Bw'otyo bw'okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw'eryato, n'emikono ataano obugazi bwalyo, n'emikono asatu obugulumivu bwalyo. 16Osalangako ekituli ku lyato, era ng'omukono gumu bw'olimala waggulu; n'omulyango gw'eryato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo; okolanga eryato nga lirina ennyumba eya wansi, n'ey'okubiri, n'ey'okusatu. 17#Lub 7:4, 2 Peet 2:5Nange, laba, nze ndireeta amataba ag'amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. 18Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo wamu naawe. 19Ne mu buli kiramu mu birina omubiri byonna, bibiri bibiri mu buli ngeri by'olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n'ekikazi. 20Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky'omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri bibiri bibiri birijja gy'oli, bibe ebiramu. 21Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy'oli ggwe nabyo. 22#Kuv 40:16, Beb 11:7Nuuwa n'akola bw'atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw'atyo bwe yakola.

Избрани в момента:

Olubereberye 6: LUG68

Маркирай стих

Споделяне

Копиране

None

Искате ли вашите акценти да бъдат запазени на всички ваши устройства? Регистрирайте се или влезте