Olubereberye 15
15
1 #
Lub 26:24, Zab 3:3; 18:2, Luk 1:13,30, Beb 11:6 Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n'empeera yo ennene ennyo. 2Ibulaamu n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana, naye alirya ennyumba yange ye Ddamesiko Erieza? 3#Lub 14:14Ibulaamu n'ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange. 4#Lub 17:16Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo. 5#Lub 22:17, Kuv 32:13, Zab 147:4, Bar 4:18, Beb 11:12N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw'onooyinza okuzibala: n'amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo. 6#Zab 106:31, Bar 4:3,9,22, Bag 3:6, Yak 2:23N'akkiriza Mukama; n'akumubalira okuba obutuukirivu. 7#Lub 11:31; 12:1N'amugamba nti Nze Mukama eyakuggya mu Uli eya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira. 8#Balam 6:17, 2 Bassek 20:8, Is 7:11-13, Luk 1:18N'ayogera nti Ai Mukama Katonda, kiki ekinantegeeza nga ndigisikira? 9N'amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto. 10#Leev 1:17, Yer 34:18,19Ne yeetwalira ebyo byonna, n'abyasaamu wakati, n'ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ennyonyi n'atazaasaamu. 11N'amasega ne gagwa ku mirambo, Ibulaamu n'agagoba. 12#Lub 2:21Awo enjuba bwe yali ng'egwa, otulo otungi ne tugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey'ekizikiza ekikutte n'emugwako. 13#Kuv 1:11,12; 12:40, Bik 7:6N'agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina; 14#Kuv 6:6; 12:36, Bik 7:7era n'eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi. 15#Lub 25:8Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n'emirembe; oliziikibwa bw'olimala okuwangaala obulungi. 16#1 Bassek 21:26, Am 2:9, Mat 23:32, 1 Bas 2:16Ne mu mirembe egy'okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw'Omwamoli tebunnatuukirira. 17Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo. 18#Lub 12:7; 13:15, Kuv 23:31, Ma 1:7, Yos 1:4, Nek 9:8, Is 27:12Ku lunaku olwo Mukama n'alagaana ne Ibulaamu, ng'ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19Omukeeni, n'Omukenizi, n'Omukadumooni, 20n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Abaleefa, 21n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omugirugaasi, n'Omuyebusi.
Избрани в момента:
Olubereberye 15: LUG68
Маркирай стих
Споделяне
Копиране
Искате ли вашите акценти да бъдат запазени на всички ваши устройства? Регистрирайте се или влезте
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.