Olubereberye 9
9
1 #
Lub 8:17
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi. 2#Lub 1:26N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe. 3#Lub 1:29, Ma 12:15, 1 Tim 4:3,4Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde. 4#Leev 3:17; 7:26; 17:10,11, Ma 12:16,23, 1 Sam 14:34, Bik 15:20,29Naye ennyama awamu n'obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga. 5#Kuv 21:28, Kubal 35:30,31Era omusaayi gwammwe, ogw'obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo n'aguvunaananga: n'eri omuntu, eri buli muganda w'omuntu, n'avunaananga obulamu bw'omuntu. 6#Lub 1:27, Kuv 21:12,14, Leev 24:17, Kubal 35:33, Mat 26:52, Kub 13:10Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu. 7Nammwe mwalenga, mweyongerenga; muzaalenga nnyo ku nsi, mweyongerenga omwo.
8Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be awamu naye, 9#Lub 6:18, Kaab 2:15nti Nange, laba, nnywezezza endagaano yange nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo; 10era na buli kiramu ekiri awamu nammwe, ennyonyi, ente, na buli nsolo ey'ensi awamu nammwe; byonna ebiva mu lyato, buli nsolo ey'ensi. 11#Is 54:9Nange naanywezanga endagaano yange nammwe; so ebirina omubiri byonna tebikyazikirizibwa nate mulundi gwa kubiri n'amazzi ag'amataba; so tewakyabaawo mataba nate mulundi gwa kubiri okuzikiriza ensi. 12Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze nammwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo: 13#Ez 1:28, Kub 4:3nteeka musoke wange ku kire, era anaabanga kabonero ak'endagaano gye ndagaanye n'ensi. 14Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku kire, 15#Leev 26:42,45, 1 Bassek 8:23, Is 54:9nange najjukiranga endagaano yange, gye ndagaanye nze nammwe na buli kitonde kiramu ekirina omubiri kyonna; n'amazzi tegaafuukenga nate mataba okuzikiriza omubiri gwonna. 16#Lub 17:7,19, 2 Sam 23:5Ne musoke anaabanga ku kire nange naamutunuuliranga, njijukire endagaano eteridiba Katonda gy'alagaanye na buli kitonde ekiramu ekirina omubiri kyonna ekiri mu nsi. 17Katonda n'agamba Nuuwa nti Ako ke kabonero ak'endagaano gye nnywezezza nze na buli ekirina omubiri ekiri mu nsi.
18 #
Lub 6:10
N'abaana ba Nuuwa, abaava mu lyato, Seemu, ne Kaamu, ne Yafeesi: ne Kaamu ye yazaala Kanani. 19#Lub 10:1-32Abo bonsatule Nuuwa be yazaala: n'abazzukulu b'abo be baabuna ensi zonna.
20Nuuwa n'atanula okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu: 21n'anywa ku mwenge gwalwo, n'atamiira: n'akunamira mu weema ye. 22Kaamu, ye yazaala Kanani, n'alaba ensonyi za kitaawe, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe nga gatunuulira nnyuma, ne batalaba nsonyi za kitaabwe. 24#Kaab 2:15Nuuwa n'atamiirukuka mu mwenge gwe, n'amanya omwana we omuto bwe yamukola. 25#Ma 27:16, Yos 9:23, Balam 1:28, 1 Bassek 9:20,21N'ayogera nti
Kanani akolimirwe;
Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be.
26Era yayogera nti
Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu;
Era Kanani abeerenga muddu we.
27Katonda agaziye Yafeesi,
Era atuulenga mu weema za Seemu;
Era Kanani abeerenga muddu we.
28Nuuwa n'awangaala amataba nga gamaze okubaawo emyaka bisatu mu ataano. 29N'ennaku zonna eza Nuuwa zaali myaka lwenda mu ataano: n'afa.
Currently Selected:
Olubereberye 9: LUG68
ማድመቅ
Share
Copy
ያደመቋቸው ምንባቦች በሁሉም መሣሪያዎችዎ ላይ እንዲቀመጡ ይፈልጋሉ? ይመዝገቡ ወይም ይግቡ
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.