1
ENTANDIKWA 2:24
Luganda DC Bible 2003
Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne baba omuntu omu.
對照
ENTANDIKWA 2:24 探索
2
ENTANDIKWA 2:18
Awo Mukama Katonda n'agamba nti: “Si kirungi omuntu okubeera yekka. Nja kumukolera omubeezi amusaanira.”
ENTANDIKWA 2:18 探索
3
ENTANDIKWA 2:7
Awo Mukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu y'ettaka, n'amufuuwa mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'atandika okuba omulamu.
ENTANDIKWA 2:7 探索
4
ENTANDIKWA 2:23
Omusajja n'agamba nti: “Ddala ono ye muntu munnange, lye ggumba erivudde mu magumba gange, gwe mubiri oguvudde mu mubiri gwange. Anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.”
ENTANDIKWA 2:23 探索
5
ENTANDIKWA 2:3
N'awa omukisa olunaku olw'omusanvu, n'alutukuza, kubanga ku lunaku olwo, kwe yamalira okutonda, n'alekera awo okukola.
ENTANDIKWA 2:3 探索
6
ENTANDIKWA 2:25
Omusajja ne mukazi we bombiriri baali bwereere, naye tebaakwatibwa nsonyi.
ENTANDIKWA 2:25 探索
主頁
聖經
計劃
影片