1
ENTANDIKWA 24:12
Luganda Bible 2003
N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, nkusaba ompe omukisa mu bye nnaakola olwaleero, era okolere mukama wange Aburahamu eby'ekisa.
Karşılaştır
ENTANDIKWA 24:12 keşfedin
2
ENTANDIKWA 24:14
Kale omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo, ompe ku mazzi nnywe,’ n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera ne zinywa,’ nga ye oyo gw'olondedde omuweereza wo Yisaaka. Ekyo kwe nnaategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
ENTANDIKWA 24:14 keşfedin
3
ENTANDIKWA 24:67
Awo Yisaaka n'aleeta Rebbeeka mu weema eyali eya Saara nnyina, n'amufuula mukazi we. Yisaaka n'ayagala Rebbeeka, bw'atyo n'akubagizibwa olwa nnyina gwe yafiirwa.
ENTANDIKWA 24:67 keşfedin
4
ENTANDIKWA 24:60
Ne basabira Rebbeeka omukisa, ne bagamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina w'abantu nkumi na nkumi. Ne bazzukulu bo bawangulenga ebibuga by'abalabe baabwe.”
ENTANDIKWA 24:60 keşfedin
5
ENTANDIKWA 24:3-4
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nti toliwasiza mwana wange mukazi ava mu bantu ba wano mu Kanaani, be mbeeramu. Naye ogendanga mu nsi gye nazaalibwamu, era mu baganda bange, n'owasiza omwana wange Yisaaka omukazi.”
ENTANDIKWA 24:3-4 keşfedin
Ana Sayfa
Kutsal Kitap
Okuma Planları
Videolar