N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna. Ne balya bonna ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw'emigaati n'obw'ebyennyanja ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12).