1
ENTANDIKWA 3:6
Luganda Bible 2003
Omukazi n'alaba ng'ebibala by'omuti birungi okulya, era nga nagwo gwennyini gusanyusa amaaso. N'agwegomba, kubanga guleeta amagezi. Kyeyava anoga ku bibala byagwo, n'alya. N'awaako ne bba, naye n'alya.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
ENTANDIKWA 3:1
Omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu ttale, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gubuuza omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu nnimiro?’ ”
3
ENTANDIKWA 3:15
Nnaakukyawaganyanga n'omukazi, era nnaakyawaganyanga ezzadde lye n'eriryo. Ezzadde ly'omukazi lirikubetenta omutwe, ate ggwe oliribojja ekisinziiro.”
4
ENTANDIKWA 3:16
N'agamba omukazi nti: “Nnaakwongerangako obulumi ng'oli lubuto. Mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana. Kyokka newaakubadde nga kiri bwe kityo, oneegombanga balo, era ye anaakufuganga.”
5
ENTANDIKWA 3:19
Onookolanga nnyo n'otuuyana okufuna emmere gy'olya, okutuusa lw'olidda mu ttaka mwe waggyibwa, kubanga ggwe oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
6
ENTANDIKWA 3:17
N'agamba omusajja nti: “Nga bwe wawulirizza mukazi wo, n'olya ekibala kye nakugamba nti tokiryangako, ensi ekolimiddwa olw'okubeera ggwe. Onootegananga okufuna ebyokulya obulamu bwo bwonna.
7
ENTANDIKWA 3:11
Katonda n'amubuuza nti: “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti, gwe nakugaana okulyako?”
8
ENTANDIKWA 3:24
Ebuvanjuba w'ennimiro y'e Edeni, Katonda n'ateekayo bakerubi n'ekitala ekimyansa, ekikyukira ku njuyi zonna, okukuumanga ekkubo eriraga ku muti gw'obulamu.
9
ENTANDIKWA 3:20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya Haawa, kubanga ye nnyina w'abalamu bonna.
Pekutangira
Bhaibheri
Zvirongwa
Mavideo