1
Olubereberye 1:26-27
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Katonda n'ayogera nti Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe; bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu n'ente n'ensi yonna na buli ekyewalula ku nsi. Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusaja n'omukazi bwe yabatonda.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Olubereberye 1:28
Katonda n'abawa omukisa: Katonda n'abagamba nti Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.
3
Olubereberye 1:1
Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.
4
Olubereberye 1:2
Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi.
5
Olubereberye 1:3
Katonda n'ayogera nti Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu.
6
Olubereberye 1:31
Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba, enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.
7
Olubereberye 1:4
Katonda n'alaba ng'obutangaavu bulungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikiza.
8
Olubereberye 1:29
Katonda n'ayogera nti Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu ekibala ky'omuti ogubala ensigo; eri mmwe gunaabanga mmere
9
Olubereberye 1:5
Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.
10
Olubereberye 1:6
Katonda n'ayogera nti Wabeewo ebbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi.
11
Olubereberye 1:30
n'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali.
12
Olubereberye 1:14
Katonda n'ayogera nti Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro: bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka
13
Olubereberye 1:11
Katonda n'ayogera nti Ensi emere ebimera, omuddo ogubala ensigo, omuti ogw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali.
14
Olubereberye 1:7
Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali.
15
Olubereberye 1:12
Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mu ngeri yaagwo: Katonda n'alaba nga birungi.
16
Olubereberye 1:16
Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene: ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro; era n'emmunyeenye.
17
Olubereberye 1:9-10
Katonda n'ayogera nti Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo ekimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali. Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga birungi.
18
Olubereberye 1:22
Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti Mweyongere mwale mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi.
19
Olubereberye 1:24
Katonda n'ayogera nti Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.
20
Olubereberye 1:20
Katonda n'ayogera nti Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ekibuuka kibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu.
21
Olubereberye 1:25
Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaayo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi.
Pekutangira
Bhaibheri
Zvirongwa
Mavideo