Logotip YouVersion
Search Icon

Olubereberye 10

10
Bazzukulu ba Nuuwa
1 Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
Bazzukulu ba Kuusi
2 Batabani ba Yafeesi:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.
3 Batabani ba Gomeri be bano:
Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 Batabani ba Yivani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. 5(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
Bazzukulu ba Kaamu
6 Batabani ba Kaamu be bano:
Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,#10:6 Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya ne Kanani.
7Batabani ba Kuusi be bano:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.
Batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
8Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. 9Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 10 Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.#10:10 Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda. 11 Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15 Kanani ye yazaala
Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 16 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 18 n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 19 Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
Bazzukulu ba Seemu
21 Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22 Abaana ba Seemu be bano:
Eramu, ne Asuli,#10:22 Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli. ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
23 Batabani ba Alamu:
Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.
24 Alupakusaadi ye kitaawe wa#10:24 yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa Seera.
Seera ye kitaawe wa Eberi.
25Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,
kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
26Yokutaani ye yali kitaawe wa
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32 Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.

Currently Selected:

Olubereberye 10: EEEE

Označeno

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in