1
Olubereberye 9:12-13
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
Primerjaj
Explore Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
Explore Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
Explore Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
Explore Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
Explore Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
Explore Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Explore Olubereberye 9:7
Home
Bible
Plans
Videos