1
Olubereberye 3:6
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya.
Primerjaj
Explore Olubereberye 3:6
2
Olubereberye 3:1
Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, MUKAMA Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”
Explore Olubereberye 3:1
3
Olubereberye 3:15
Nteeka obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
Explore Olubereberye 3:15
4
Olubereberye 3:16
N’agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.”
Explore Olubereberye 3:16
5
Olubereberye 3:19
Mu ntuuyo zo mw’onoggyanga ekyokulya, okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
Explore Olubereberye 3:19
6
Olubereberye 3:17
N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako, “ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo.
Explore Olubereberye 3:17
7
Olubereberye 3:11
N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
Explore Olubereberye 3:11
8
Olubereberye 3:24
Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.
Explore Olubereberye 3:24
9
Olubereberye 3:20
Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.
Explore Olubereberye 3:20
Home
Bible
Plans
Videos