YouVersion
Pictograma căutare

Olubereberye 6:1-4

Olubereberye 6:1-4 EEEE

Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. Awo MUKAMA n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.