YouVersion
Pictograma căutare

Olubereberye 10

10
Abantu abaasibuka mu batabani ba Nuuwa (10:1—11:9)
1Bano be bazzukulu ba Nuuwa, batabani be Seemu, Kaamu ne Yafeesi be baazaala, amataba nga gamaze okubaawo.#1 Byom 1:5-7, Ez 38:1-6
2Abaana ba Yafeesi be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yivani, Tubali, Meseki, ne Tirasi. 3Abaana ba Gomeri be bano: Asukenaazi, Lifasi, ne Togaluma. 4Abaana ba Yavani be bano: Erisa, Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu. 5Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeesi, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera.
6Abaana ba Kaamu be bano: Kuusi, Mizulayimu,#10:6 Mizulayimu Mizulayimu ye Misiri, ate Puuti ye Libiya Puuti, ne Kanani.#1 Byom 1:8-10 7Abaana ba Kuusi be bano: Seeba, Kavira, Sabuta, Laama, ne Sabuteka. Abaana ba Laama ye Seeba ne Dedani. 8Kuusi n'azaala Nimuloodi; eyali omusajja ow'amaanyi mu nsi. 9Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama; kye kyavanga kyogerwa nti, “Mukama akufuule muyizzi ow'amaanyi nga Nimuloodi.” 10Mu kusooka, obwakabaka bwe bwali buzingiramu Baberi, Ereki, Akudi, ne Kalune; byonna eby'omu nsi Sinali. 11N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n'azimba Nineeve, Lekobosiyira, Kala, 12ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala, ekibuga ekinene. 13Abaana ba Mizulayimu be bano: Ludimu, Anamimu, Lekabimu, ne Nafutukimu,#1 Byom 1:11-16 14Pasulusimu ne Kasulukimu, omwava Abafirisuuti, ne Kafutolimu.
15Abaana ba Kanani be bano: Zidoni omubereberye we, ne Keesi. 16Kanani era y'asibukamu bano: Abayebusi, Abamoli, Abagirugaasi, 17Abakiivi, Abamwaluki, Abasiini; 18Abaluvada, Abazemali, n'Abakamasi. Awo ebika by'Abakanani we byava okubuna. 19N'ensalo z'ensi y'Abakanani yava e Zidoni okwolekera Gerali, okutuuka e Gaza; era n'etuuka n'e Lasa, okwolekera Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu. 20Abo be baana ba Kaamu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
21Ne Seemu, mukulu wa Yafeesi, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana. 22Abaana ba Seemu be bano: Eramu, Asuli, Alupakusaadi, Ludi, ne Alamu.#1 Byom 1:17-25 23Abaana ba Alamu be bano: Uzi, Kuuli, Ggeseri, ne Masi. 24Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi. 25Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Peregi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani. 26Yokutaani yazaala Alumodaadi ne Serefu, Kazalumaveesi, Yera; 27Kadolaamu, Uzali, Dikula; 28Obali, Abimayeeri, Seeba; 29Ofiri, Kavira, ne Yobabu. Abo bonna be baana ba Yokutaani. 30Ensi mwe baatuulanga yavanga ku Mesa, n'etuuka ku Serali, olusozi olw'ebuvanjuba. 31Abo be baana ba Seemu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
32Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe; era mu abo amawanga mwe gaava okusaasaanira mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.#Lub 9:19

Selectat acum:

Olubereberye 10: LBR

Evidențiere

Partajează

Copiază

None

Dorești să ai evidențierile salvate pe toate dispozitivele? Înscrie-te sau conectează-te