1
ENTANDIKWA 19:26
Luganda DC Bible 2003
Looti yali akulembeddemu, naye mukazi we eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi y'omunnyo.
Compară
Explorează ENTANDIKWA 19:26
2
ENTANDIKWA 19:16
Looti n'alwa. Kyokka Mukama olw'okumusaasira, abasajja ne bakwata ku mukono Looti ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babatwala ebweru w'ekibuga.
Explorează ENTANDIKWA 19:16
3
ENTANDIKWA 19:17
Bwe bamala okubaggyiramu ddala, omu ku bamalayika n'agamba nti: “Mudduke, muleme okufa. Temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi. Muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
Explorează ENTANDIKWA 19:17
4
ENTANDIKWA 19:29
Naye Katonda bwe yali azikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Looti mwe yabeeranga, n'ajjukira Aburahamu, n'akkiriza Looti abiveemu.
Explorează ENTANDIKWA 19:29
Acasă
Biblia
Planuri
Videoclipuri