1
Olubereberye 9:12-13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Katonda era n'agamba nti, “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: ntadde musoke ku bire, abeerenga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi.
Compară
Explorează Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiramu ebiri ku nsi.”
Explorează Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
Buli anattanga omuntu naye anattibwanga, kubanga omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
Explorează Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti, “Mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi.
Explorează Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Nga bwe n'abawa ebimera okuba emmere, era mbawadde na buli kiramu ekitambula okuba emmere gye muli; buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli.
Explorează Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Binaabanga mu buyinza bwammwe.
Explorează Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Naye mmwe muzaale nnyo, mweyongerenga, mujjuze ensi.”
Explorează Olubereberye 9:7
Acasă
Biblia
Planuri
Videoclipuri