Olubereberye 17:12-13
Olubereberye 17:12-13 LUG68
Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyo munnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe. Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba.