1
Olubereberye 7:1
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Mukama n'agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino.
Vergelijk
Ontdek Olubereberye 7:1
2
Olubereberye 7:24
Amazzi ne gayinza ku nsi ennaku kikumi mu ataano.
Ontdek Olubereberye 7:24
3
Olubereberye 7:11
Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna, ez'omu nnyanja ennene, n'ebituli eby'omu ggulu ne bigguka.
Ontdek Olubereberye 7:11
4
Olubereberye 7:23
N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.
Ontdek Olubereberye 7:23
5
Olubereberye 7:12
Enkuba n'etonnyera ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.
Ontdek Olubereberye 7:12
Thuisscherm
Bijbel
Leesplannen
Video's