1
Lukka 6:38
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
Bandingkan
Selidiki Lukka 6:38
2
Lukka 6:45
Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
Selidiki Lukka 6:45
3
Lukka 6:35
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.
Selidiki Lukka 6:35
4
Lukka 6:36
Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.”
Selidiki Lukka 6:36
5
Lukka 6:37
“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa.
Selidiki Lukka 6:37
6
Lukka 6:27-28
“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.
Selidiki Lukka 6:27-28
7
Lukka 6:31
Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”
Selidiki Lukka 6:31
8
Lukka 6:29-30
Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga. Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
Selidiki Lukka 6:29-30
9
Lukka 6:43
“Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi.
Selidiki Lukka 6:43
10
Lukka 6:44
Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo.
Selidiki Lukka 6:44
Halaman Utama
Alkitab
Pelan
Video