1
Olubereberye 9:12-13
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
Bandingkan
Selidiki Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
Selidiki Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
Selidiki Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
Selidiki Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
Selidiki Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
Selidiki Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Selidiki Olubereberye 9:7
Halaman Utama
Alkitab
Pelan
Video