1
Olubereberye 17:1
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, MUKAMA n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
Bandingkan
Selidiki Olubereberye 17:1
2
Olubereberye 17:5
Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
Selidiki Olubereberye 17:5
3
Olubereberye 17:7
Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe.
Selidiki Olubereberye 17:7
4
Olubereberye 17:4
“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
Selidiki Olubereberye 17:4
5
Olubereberye 17:19
Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
Selidiki Olubereberye 17:19
6
Olubereberye 17:8
Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”
Selidiki Olubereberye 17:8
7
Olubereberye 17:17
Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
Selidiki Olubereberye 17:17
8
Olubereberye 17:15
Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
Selidiki Olubereberye 17:15
9
Olubereberye 17:11
Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
Selidiki Olubereberye 17:11
10
Olubereberye 17:21
Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
Selidiki Olubereberye 17:21
11
Olubereberye 17:12-13
Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
Selidiki Olubereberye 17:12-13
Halaman Utama
Alkitab
Pelan
Video