1
Lukka 22:42
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.
Kokisana
Luka Lukka 22:42
2
Lukka 22:32
naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.
Luka Lukka 22:32
3
Lukka 22:19
N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.
Luka Lukka 22:19
4
Lukka 22:20
Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya, ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.
Luka Lukka 22:20
5
Lukka 22:44
N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi.
Luka Lukka 22:44
6
Lukka 22:26
Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza.
Luka Lukka 22:26
7
Lukka 22:34
N'agamba nti Nkubuulira ggwe, Peetero enkoko leero tejja kukookolima, nga tonnanneegaana emirundi esatu nti tommanyi
Luka Lukka 22:34
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo