1
Lukka 17:19
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.
Kokisana
Luka Lukka 17:19
2
Lukka 17:4
Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.
Luka Lukka 17:4
3
Lukka 17:15-16
Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya.
Luka Lukka 17:15-16
4
Lukka 17:3
Mwekuumenga muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga.
Luka Lukka 17:3
5
Lukka 17:17
Yesu n'addamu n'agamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa?
Luka Lukka 17:17
6
Lukka 17:6
Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.
Luka Lukka 17:6
7
Lukka 17:33
Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya.
Luka Lukka 17:33
8
Lukka 17:1-2
N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta! Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato.
Luka Lukka 17:1-2
9
Lukka 17:26-27
Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu. Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.
Luka Lukka 17:26-27
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo