1
Yokaana 5:24
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
Kokisana
Luka Yokaana 5:24
2
Yokaana 5:6
Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?
Luka Yokaana 5:6
3
Yokaana 5:39-40
Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange; era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
Luka Yokaana 5:39-40
4
Yokaana 5:8-9
Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule. Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.
Luka Yokaana 5:8-9
5
Yokaana 5:19
Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo.
Luka Yokaana 5:19
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo