1
Yokaana 3:16
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.
Kokisana
Luka Yokaana 3:16
2
Yokaana 3:17
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.
Luka Yokaana 3:17
3
Yokaana 3:3
Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.
Luka Yokaana 3:3
4
Yokaana 3:18
Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.
Luka Yokaana 3:18
5
Yokaana 3:19
Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi.
Luka Yokaana 3:19
6
Yokaana 3:30
Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.
Luka Yokaana 3:30
7
Yokaana 3:20
Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.
Luka Yokaana 3:20
8
Yokaana 3:36
Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
Luka Yokaana 3:36
9
Yokaana 3:14
Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa
Luka Yokaana 3:14
10
Yokaana 3:35
Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe.
Luka Yokaana 3:35
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo