1
Yokaana 1:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye
Kokisana
Luka Yokaana 1:12
2
Yokaana 1:1
Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
Luka Yokaana 1:1
3
Yokaana 1:5
Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
Luka Yokaana 1:5
4
Yokaana 1:14
Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
Luka Yokaana 1:14
5
Yokaana 1:3-4
Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
Luka Yokaana 1:3-4
6
Yokaana 1:29
Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
Luka Yokaana 1:29
7
Yokaana 1:10-11
Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
Luka Yokaana 1:10-11
8
Yokaana 1:9
Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
Luka Yokaana 1:9
9
Yokaana 1:17
Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
Luka Yokaana 1:17
Ndako
Biblia
Bibongiseli
Bavideo