1
Lukka 19:10
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.
Compare
Explore Lukka 19:10
2
Lukka 19:38
nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo.
Explore Lukka 19:38
3
Lukka 19:9
Yesu n'amugamba nti Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu.
Explore Lukka 19:9
4
Lukka 19:5-6
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo. N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka.
Explore Lukka 19:5-6
5
Lukka 19:8
Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti Laba, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nnalyazaamaanya omuntu yenna ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.
Explore Lukka 19:8
6
Lukka 19:39-40
Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamugamba nti Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo. N'addamu n'abagamba nti Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.
Explore Lukka 19:39-40
Home
Bible
გეგმები
Videos