1
Yokaana 4:24
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.
Compare
Explore Yokaana 4:24
2
Yokaana 4:23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
Explore Yokaana 4:23
3
Yokaana 4:14
naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
Explore Yokaana 4:14
4
Yokaana 4:10
Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.
Explore Yokaana 4:10
5
Yokaana 4:34
Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
Explore Yokaana 4:34
6
Yokaana 4:11
Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu?
Explore Yokaana 4:11
7
Yokaana 4:25-26
Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna. Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe.
Explore Yokaana 4:25-26
8
Yokaana 4:29
Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo?
Explore Yokaana 4:29
Home
Bible
გეგმები
Videos